Jeremiah 25:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigambo byange byonna bye nawerera ensi eno, ebyawandiikibwa mu kitabo kino, byonna Yeremiya bye yalanga eby'okugwira amawanga gonna, nzija kubikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndireeta ku nsi eyo ebigambo byange byonna bye nnagyogerako, byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino Yeremiya bye yayogera eri amawanga gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndituusa ku nsi eyo byonna bye nalangirira ku mawanga gonna, nga mpita mu Yeremiya, ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndireeta ku nsi eyo ebigambo byange byonna bye tunagyogerako, byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino Yeremiya kye yalagula eri amawanga gonna.