Jeremiah 25:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo baliweereza ng'abaddu amawanga nkumu ne bakabaka ab'amaanyi; ndibasasula nga ngerera ku bikolwa byabwe ne ku mikono gyabwe bye gyakola.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amawanga mangi ne bakabaka abakulu abalibafuula abaddu, era ndibasasula ng'ebikolwa byabwe bwe biri era ng'omulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndyesasuza ku Bakaludaaya olw'ebyo bye baakola. Amawanga mangi, ne bakabaka abakulu, balibafuula abaddu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amawanga mangi ne bakabaka abakulu abalibafuula abaddu, abo be balifuula abaddu: era ndibasasula ng'ebikolwa byabwe bwe biri era ng'omulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli.