Jeremiah 25:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wa Yisirayeli kino kye yaŋŋamba: “Nzigya mu ngalo ekikompe kino eky'evviini ey'obusungu oginywese amawanga gonna gye ŋŋenda okukutuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yaŋŋamba nti, “Toola ekikompe eky'omwenge ogw'ekiruyi kino mu mukono gwange, okinyweseeko amawanga gonna gye nkutuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama Katonda wa Yisirayeli n'aŋŋamba nti: “Kwata ekikopo ekiri mu ngalo zange, ekijjudde obusungu bwange, okinyweseeko ab'amawanga gonna gye nkutuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati Mukama Katonda wa Isiraeri bw'aŋŋamba nti Toola ekikompe eky'omwenge ogw'ekiruyi kino mu mukono gwange, oginyweseeko amawanga gonna gye nkutuma.