Jeremiah 25:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeruzaalemu n'ebibuga bya Yuda, bakabaka baakyo n'abakungu, ndyoke mbifuule amatongo, ebyesisiwaza, ebinyoomebwa era ekikolimo nga bwe kiri olwa leero;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda ne bakabaka baamu n'abakungu baamu, ne bakinywako, okubafuula amatongo, n'ekyewuunyo, n'okusoozebwanga, n'ekikolimo; nga bwe kiri ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Yerusaalemu n'ab'omu bibuga byonna ebya Buyudaaya, wamu ne bakabaka n'abakungu baamu, ne bakinywesebwako, ebibuga ebyo biryoke bifuuke matongo ag'entiisa era aganyoomebwa, abantu bakozesenga amannya gaabyo nga bakolima, ng'era bwe bakola kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda ne bakabaka baamu n'abakungu baamu, okubafuula amatongo n'ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'ekikolimo; nga bwe kiri leero;