Jeremiah 25:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bakabaka bonna ab'emambuka, ab'okumpi n'ab'ewala, okuva ku omu okudda ku mulala, ne bakabaka bonna ku nkulungo y'ensi. Bonna abo nga baweddeyo, olwo ne kabaka w'e Sesaki naye alinywa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi. Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bakabaka bonna ab'obukkiikkakkono, ab'ewala n'ab'okumpi, buli muntu ne munne; n'ensi zonna eza bakabaka bwe benkana eziri ku nsi; bonna balikinywesebwako. Kabaka w'e Sesaki ye alisembayo okukinywako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bakabaka bonna ab'omu bukiikakkono, ab'ewala n'ab'okumpi, buli kinnoomu. Ab'omu mawanga gonna balikinywesebwako. Kabaka wa Sesaki ye alisembayo okukinywako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bakabaka bonna ab'obukiika obwa kkono ab'ewala n'ab'okumpi, buli muntu ne munne; n'ensi zonna eza bakabaka bwe benkana eziri ku nsi; ne kabaka w'e Sesaki alibaddirira okunywa.