Jeremiah 25:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Era obagambe nti ‘Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Munywe, mutamiire, museseme, mugwe eri nga temukyaddayo kusituka olw'ekitala kye nzija okusindika mu mmwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era olibagamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Munywe mutamiire museseme mugwe so temuyimuka nate olw'ekitala kye ndiweereza mu mmwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Tegeeza abantu nti Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Munywe, mutamiire, museseme, mugwe wansi, muleme kusitukawo, olw'olutalo lwe ndisindika mu mmwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Munywe mutamiire museseme mugwe so temuyimuka nate olw'ekitala kye ndiweereza mu mmwe.