Jeremiah 25:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baligaana okuggya ekikompe mu mikono gyo banywe, bagambe nti: ‘Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mulina okukinywa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka bwe baligaana okutoola ekikompe mu mukono gwo, okunywa, kale olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Muteekwa okunywa!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baligaana okukwata ekiri mu mukono gwo okukinywako, olibagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye agamba nti muteekwa okukinywako,’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bwe baligaana okutoola ekikompe mu mukono gwo, okunywa, kale olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Temuuleme kunywa.