Jeremiah 25:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, nzuuno ntandise okuleetera akabi ekibuga okuli erinnya lyange, mmwe mutaabonerezebwe? Temujja kusumattuka kubonerezebwa, kubanga nkoowooledde ekitala kyange ku bonna abali ku nsi, Omukama w'Amagye y'agamba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, ntandika okuleeta obubi ku kibuga ekituumiddwa erinnya lyange, era oligenda nga tobonerezeddwa? Temuliwona kubonerezebwa, kubanga ndiyita ekitala okujja ku abo bonna abatuula ku nsi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nditandikira ku kibuga kyange kyennyini okukola akabi. Balowooza nti bo be baliwona okubonerezebwa? Nedda, tebaliwona kubonerezebwa, kubanga ndisindika olutalo mu bantu bonna abali ku nsi. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, nsookera ku kibuga ekituumiddwako erinnya lyange okuleeta obubi, nammwe mwandiwonedde ddala okubonerezebwa? Temuliwona kubonerezebwa: kubanga ndiyita ekitala okujja ku abo bonna abatuula ku nsi, bw'ayogera Mukama w'eggye.