Jeremiah 25:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okuva mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogwa Yosiya, mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda, n'okutuusa ku lunaku lwa leero, gye myaka abiri mu esatu, ekigambo ky'Omukama kijja gye ndi, nange nkibabuulidde buli olukedde, naye temuwulirizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Okumala emyaka abiri mu esatu (23), okuva ku mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ogwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda n'okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kyanjijiranga ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; naye mmwe temwawulirizanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Okuva mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu nga Yosiya mutabani wa Ammoni ye kabaka wa Buyudaaya, n'okutuusa kati, gye myaka amakumi abiri mu esatu, Mukama abadde ayogera nange, era sirekangayo kubategeeza by'ayogedde. Naye mmwe mwagaana okuwuliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva ku mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda ne leero, emyaka egyo amakumi abiri mu esatu, ekigambo kya Mukama kyanjijiranga ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; naye mmwe temuwulirizanga.