Jeremiah 25:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggwe nno ebigambo bino byonna ebivumirira birange gye bali, obagambe nti: “ ‘Omukama ajja kuwuluguma ng'ayima waggulu, ajja kuta eddoboozi ng'ayima mu kisulo kye ekitukuvu; ajja kuwulugumira n'amaanyi ekisibo kye. Ajja kuleekaana ng'abasogozi b'emizabbibu; eri abo bonna abali ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti, “ ‘ Mukama Katonda anaayogerera waggulu, era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi. Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu, ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale gwe obagambanga ebigambo ebyo byonna, nti, Mukama aliwuluguma ng'ayima waggulu, alireeta eddoboozi lye ng'ayima mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera; aliwulugumira n'amaanyi ku kisibo kye; era alyogerera waggulu ng'abo abasamba ezabbibu, abo bonna abatuula ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale ggwe Yeremiya, olirangirira byonna bye njogedde. Oligamba abantu abo nti: ‘Mukama aliwuluguma ng'asinzira mu ggulu, alibwatuka ng'asinziira mu kifo kye ekitukuvu. Alibwatukira abantu be n'aleekaana ng'abo abasamba emizabbibu, awulize bonna abali ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olagulanga ku bo ebigambo ebyo byonna, obagambe nti Mukama aliwuluguma ng'ayima waggulu, alireeta eddoboozi lye ng'ayima mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera; aliwulugumira n'amaanyi ku kisibo kye; era alyogerera waggulu ng'abo abasamba ezabbibu eri abo bonna abatuula ku nsi.