Jeremiah 25:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eddoboozi lya kutuusa ku nkingi z'ensi, kubanga Omukama alina ky'avunaana amawanga; ajja kulamula buli muntu, ababi abawe eri ekitala, Omukama y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma. Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana, alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y'ensi; kubanga Mukama alina omusango gw'avunaana amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; era ababi alibawaayo eri ekitala, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi lye lirituuka ensi gy'ekoma, kubanga waliwo omusango Mukama gw'avunaana amawanga. Aliwozesa abantu bonna. Ababi alibawaayo okuttibwa. Mukama ye ayogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y'ensi; kubanga Mukama alina empaka n'amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; ababi alibawaayo eri ekitala, bw'ayogera Mukama: