Jeremiah 25:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Akabenje kaakano kalanda okuva ku ggwanga erimu okudda ku ddala; kikuŋŋunta asituse okuva ku nsonda z'ensi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi; enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba, akabi kalifuluma okuva mu ggwanga erimu okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa okuva ku njegoyego ez'enkomerero z'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Akabi kaliranda, okuva ku ggwanga erimu, okudda ku ddala, era kibuyaga ow'amaanyi alikunta, okuva ku nsonda z'ensi ez'ewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, obubi bulifuluma okuva mu ggwanga okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa aliva ku njegoyego z'ensi ez'enkomerero.