Jeremiah 25:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama b'alitta ku olwo balibikka okuva ku nsonda emu ey'ensi okutuuka ku ndala; tebalikaabirwa, tebalikuŋŋaanyizibwa yadde okuziikibwa, wabula balisaasaana ng'obusa ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo Mukama b'alitta baliva ku nkomerero y'ensi balituuka ku nkomerero yaayo, tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, emirambo gy'abo Mukama b'alitta, girisaasaanira wonna, okuva ensi gy'etandikira, okutuuka gy'ekoma. Tebalikungubagirwa, era tebalikuŋŋanyizibwa ne baziikibwa. Balisigala kungulu ng'obusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo Mukama b'alitta baliva ku nkomerero y'ensi balituuka ku nkomerero yaayo: tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g'ensi.