Jeremiah 25:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukube ebiwoobe, mmwe abasumba, mulaajane; mwevulunge mu nfuufu, mmwe abakulu b'eggana; kubanga ennaku zammwe zituuse ez'okusanjagibwa n'ez'okusesegguka ng'ebibya eby'omuwendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukaabe mulaajane mmwe abasumba, mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo. Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muwowoggane, mmwe abasumba, mukaabe; mwekulukuunye mu vvu, mmwe abakulu ab'omu kisibo; kubanga ennaku ez'okuttibwa kwammwe zituukidde ddala, nange ndibamenyaamenya, nammwe muligwa ng'ekibya ekisanyusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleekaane mmwe abakulembeze, mukube ebiwoobe! Mmwe abalabirira abantu bange mwekulukuunye mu nfuufu, kubanga ekiseera kituuse muttibwe era mwasibweyasibwe ng'ekibya eky'omuwendo ekigudde ne kyatikayatika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwowoggane, mmwe abasumba, mukaabe; mwekulukuunye mu vvu, mmwe abakulu ab'omu kisibo: kubanga ennaku ez'okuttibwa kwammwe zituukidde ddala, nange ndibamenyaamenya, nammwe muligwa ng'ekibya ekisanyusa.