Jeremiah 25:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagana g'eddembe bagabunizza, mu maaso g'obusungu bw'Omukama obwesera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amalundiro amalungi galifuuka matongo olw’obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebisibo ebyabangamu emirembe, birisasanyizibwa olw'ekiruyi kya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era ensi yaabwe eyabeerangamu emirembe, Mukama mu busungu bwe agifudde matongo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebisibo ebyabangamu emirembe bisirisibwa olw'ekiruyi kya Mukama.