Jeremiah 25:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alese enfo ye ng'empologoma; kubanga ensi yaabwe efuuse matongo mu maaso g'obusungu obwesera; mu maaso g'obusungu bw'Omukama obukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ajja kuleka ekisulo kye ng’empologoma bw’eva w’esula, n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyi era n’olw’obusungu bwa Mukama obw’entiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'empologoma evudde mu bwekwekero bwayo, kubanga ensi yaabwe efuuse etagasa olw'ekitala ky'omujoozi, n'olw'ekiruyi kya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ayabulidde abantu be, ng'empologoma bw'eva mu mpuku yaayo. Entiisa y'olutalo n'ekiruyi kya Mukama, ensi yaabwe bigifudde matongo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Avudde mu bwekwekero ng'empologoma: kubanga ensi yaabwe efuuse ekyewuunyo olw'obukambwe bw'ekitala ekijooga n'olw'ekiruyi kye.