Jeremiah 25:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama atumye buli olukedde gye muli abaweereza be bonna abalanzi, naye temwawuliriza, newandibadde okumutegera amatu gammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temwawulirizanga wadde okutega amatu gammwe okuwulira, newakubadde Mukama yayongera okubatumiranga abaddu be bonna bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwagaana okuwuliriza, wadde okussaayo omwoyo, newaakubadde nga Mukama yayongera okubatumiranga abaweereza be abalanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama yabatumiranga abaddu be bonna bannabbi, ng'agolokoka mu makya ng'abatuma; naye mmwe temuwulirizanga so temuteganga kutu kwammwe okuwulira;