Jeremiah 25:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baagambanga nti: ‘Mukomeewo, buli omu, muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi, lwe munaasobola okusigala mu nsi Omukama gye yabawa, mmwe ne bajjajjammwe emirembe n'emirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yayogeranga nti, ‘Mukomewo nno buli muntu ng'aleka ekkubo lye ebbi, n'ebikolwa byammwe ebibi, mulyoke mubeere mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuva edda n'okutuusa emirembe gyonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baabagambanga nti: ‘Buli muntu ave mu mpisa ze embi, era alekeyo ebikolwa bye ebibi, mulyoke musobole okubeeranga mu nsi, Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuba obutaka bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'ayogera nti Mukomewo nno buli muntu ng'aleka ekkabo lye ebbi n'obubi obw'ebikolwa byammwe, mubeere mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuva edda n'okutuusa emirembe gyonna: