Jeremiah 25:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kugoberera balubaale kubaweereza na kubasinza. Muleke kunnyiiza n'ebyo emikono gyammwe bye gyakola, olwo nange sigenda kubakola kabi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, so temunsunguwazanga nga musinza ebyo byemukola n'emikono gyammwe, nange siribakola bubi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuusinzenga balubaale, wadde okubaweerezanga, muleme kunyiiza Mukama nga musinza ebyo abantu bye bakola. Mukama bwe mulimuwulira, talibakolako kabi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, so temunsunguwazanga n'omulimu ogw'emikono gyammwe; nange siribakola bubi.