Jeremiah 25:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Naye temwampulira,’ Omukama y'agamba, ‘bwe mutyo ne munnyiiza n'ebyo emikono gyammwe bye gyakola, ne mwesombera akabi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye temwampuliranga, bw'ayogera Mukama; mulyoke munsomoze okunyiiga, olw'ebyo bye mukola n'emikono gyammwe, ne mwerumya mwekka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama yennyini agamba nti mwagaana okumuwulira. Bwe mutyo ne mumusunguwaza olw'ebyo bye mukola, ne mwereetera okubonerezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye temumpuliranga, bw'ayogera Mukama; munsunguwaze n'omulimu ogw'emikono gyammwe olw'okwerumya mwekka.