Jeremiah 25:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nzija kukunga abantu bonna ab'emambuka,’ Omukama y'agamba, ‘n'omuweereza wange Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, mbaleete balumbe ensi eno n'abalimu, n'amawanga gonna ageetooloddewo. Ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekintu eky'entiisa, ekinyoomebwa era amatongo ag'emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
laba, ndituma ne nzirira ebika byonna eby'obukiikakkono, bw'ayogera Mukama, era nditumira Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni omuddu wange, ne mbaleeta okutabaala ensi eno n'abo abali omwo n'amawanga gano gonna ageetoolodde; era ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'amatongo ag'olubeerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nja kutumya abantu bonna ab'omu bukiikakkono, n'omuweereza wange Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni, mbaleete, balwanyise ab'omu Buyudaaya, n'ab'omu mawanga gonna agaliraanyeewo. Ndizikiririza ddala eggwanga lino, n'agaliriraanye, ne ngafuula eky'entiisa, ekinyoomebwa, era amatongo ag'olubeerera. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, ndituma ne nzirira ebika byonna eby'obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama, era nditumira Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni omuddu wange, ne mbaleeta okutabaala ensi eno n'abo abali omwo n'amawanga gano gonna ageetoolodde; era ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'amatongo ag'olubeerera.