Jeremiah 26:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu ba Yuda bwe baawulira ebyo, ne bava mu lubiri lwa kabaka, ne bambuka ku Kiggwa ky'Omukama, ne batuula ku muzigo gw'Omulyango Omuggya ku Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebigambo bino, ne bava mu lubiri ne bambuka mu nnyumba ya Mukama ne batuula mu bifo byabwe awayingirirwa ku Mulyango Omuggya ogw’ennyumba ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebyo, ne bambuka nga bava mu nnyumba ya kabaka, ne bajja mu nnyumba ya Mukama; ne batuula mu ntebe zaabwe awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu ba Buyudaaya bwe baawulira ebiguddewo, ne bava mu lubiri lwa kabaka, ne bambuka ku Ssinzizo. Ne batuula ku ntebe zaabwe, mu Mulyango Omuggya ogw'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebyo, ne bambuka nga bava mu nnyumba ya kabaka, ne bajja mu nnyumba ya Mukama; ne batuula awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama.