Jeremiah 26:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona n'abalanzi ne bagamba abakungu n'abantu bonna nti: “Omuntu ono asaana kufa, kubanga avumiridde ekibuga kino, nammwe mwewuliriddeko mwennyini n'amatu gammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n’abantu bonna nti, “Omusajja ono asaana kusalirwa musango gwa kufa kubanga ayogedde ebyobunnabbi ebibi ku kibuga kino. Mukiwulidde n’amatu gammwe gennyini.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n'abantu bonna nti, “Omusajja ono asaanidde okufa; kubanga ayogedde ku kibuga kino, nga bwe muwulidde n'amatu gammwe mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabona n'abalanzi ne bagamba abakungu n'abantu bonna nti: “Omusajja ono asaanidde okusalirwa ogw'okuttibwa, kubanga ayogedde bubi ku kibuga kyaffe, nga nammwe mwennyini bwe muwulidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n'abantu bonna nti Omusajja ono asaanidde okufa; kubanga alagudde ku kibuga kino nga bwe muwulidde n'amatu gammwe mmwe.