Jeremiah 26:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yeremiya n'addamu abakungu n'abantu bonna nti: “Omukama y'antumye okulanga ku Kiggwa kino ne ku kibuga kino ebigambo ebyo byonna bye muwulidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeremiya n’agamba abakungu bonna n’abantu bonna nti, “ Mukama yantuma njogere ebyobunnabbi bwe bityo ku nnyumba eno n’ekibuga kino ebintu byonna bye muwulidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'agamba abakungu bonna n'abantu bonna nti, “Mukama ye yantuma okwogera ku nnyumba eno ne ku kibuga kino ebigambo ebyo byonna bye muwulidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nze Yeremiya ne ŋŋamba abakungu bonna, n'abantu bonna nti: “Mukama ye yantuma okulangirira ebigambo byonna bye muwulidde, ebifa ku Ssinzizo lino, ne ku kibuga kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'agamba abakungu bonna n'abantu bonna nti Mukama ye yantuma okulagula ku nnyumba eno ne ku kibuga kino ebigambo byonna bye muwulidde.