Jeremiah 26:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mugolole amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, muwulire eddoboozi ly'Omukama Katonda wammwe, n'Omukama lw'aneddamu ku kabenje ke yali abaweredde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mukyuse amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe mugondere Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama anaakyusa n’ataleeta bikangabwa by’aboogeddeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, mugondere eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe; kale Mukama alikyusa obubi bwonna bw'abalangiriddeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mulongoose empisa zammwe n'ebikolwa byammwe, era muwulire Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama alikyusa ky'abadde ateesezza okubakolako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, mugondere eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe; kale Mukama alyejjusa obubi bw'aboogeddeko.