Jeremiah 26:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nga bwendi mu mikono gyammwe; munkole kyonna mmwe kye mulaba nga kye kirungi era ekituufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze, ndi mu mikono gyammwe; munkole kyonna kye mulowooza nga kye kirungi era kye kituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze, laba, ndi mu mikono gwammwe, munkole nga bwe musiima era bwe kiri ekirungi era ekituufu gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye nze, nzuuno, ndi mu mikono gyammwe. Munkoleko kye mulaba nga kirungi era nga kituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze, laba, ndi mu mukono gwammwe: munkole nga bwe musiima era bwe kiri eky'ensonga mu maaso gammwe.