Jeremiah 26:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka mumanye bulungi nti bwe munzita, munaaba mutadde ku mmwe, ku kibuga kino ne ku bakisulamu ekibi ky'okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, kubanga, mu mazima, Omukama y'antumidde ddala gye muli okulangirira ebigambo ebyo byonna mu matu gammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumanyire ddala nno nti bwe munzita, mujja kwereetako omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutalina musango, mmwe n’ekibuga kino n’abo abakibeeramu, kubanga eky’amazima Mukama ye yantumye okwogera gye muli ebigambo bino byonna mubiwulire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka mutegeerere ddala nga bwe munanzita muneereetako omusaayi ogutaliiko musango, era ne ku kibuga kino ne ku abo abakibeeramu, kubanga mazima Mukama ye antumye gye muli okwogera ebigambo bino byonna mu matu gammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka mukimanyire ddala nti bwe munzita, mmwe n'abantu b'omu kibuga kino, muneereetako ekibi eky'okutta omuntu ataliiko musango, kubanga Mukama ye yantuma okubategeeza ebyo byonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka mutegeerere ddala bwe munanzita muneereetako omusaayi ogutaliiko musango ne ku kibuga kino ne ku abo abakibeeramu: kubanga mazima Mukama ye antumye gye muli okwogera ebigambo bino byonna mu matu gammwe.