Jeremiah 26:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abakungu n'ekibiina kyonna ne bagamba bakabona n'abalanzi nti: “Omuntu ono teyandittiddwa, kubanga ayogedde naffe mu linnya lya Mukama, Katonda waffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakungu n’abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaana kusalirwa musango gwa kufa! Ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakungu n'abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaanidde kufa; kubanga ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu b'abantu ne bagamba bakabona n'abalanzi nti: “Omusajja ono tasaanidde kuttibwa, kubanga ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakungu n'abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti Omusajja ono tasaanidde kufa; kubanga ayogeredde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.