Jeremiah 26:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mika ow'e Moreseti, eyalanganga mu mirembe gya Kezekiya, kabaka wa Yuda, yagamba abantu ba Yuda bonna nti: ‘Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “ ‘Siyoni alikabalwa ng'ennimiro, Yeruzaalemu alifuuka kifulukwa, n'olusozi lw'Ekiggwa, ntuumu okumeze ekibira.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mikka ow’e Moreseesi yawa obunnabbi mu nnaku za Keezeekiya kabaka wa Yuda. Yagamba abantu bonna aba Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “ ‘Sayuuni ajja kulimibwa ng’ennimiro, Yerusaalemi ajja kufuuka ntuumu ya mafunfugu, olusozi lwa yeekaalu, lufuuke akasozi akamezeeko ebisaka.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mikaaya Omumolasi yayogerera mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda; n'agamba abantu bonna aba Yuda ng'ayogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, olusozi Sayuuni lulikabalwa ng'ennimiro ne Yerusaalemi kirifuuka bifunvu, n'olusozi okuli ennyumba eno luliba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Heezeekiya bwe yali nga ye kabaka wa Buyudaaya, Mikka ow'e Moreseti yategeeza abantu bonna ab'omu Buyudaaya nti Mukama Nnannyinimagye agambye nti: ‘Olusozi Siyooni lulirimibwa ng'ennimiro, n'Ekibuga Yerusaalemu kirifuuka ntuumu ya bisasiro, n'olusozi okuli Essinzizo lulimerako ekibira.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mikaaya Omumolasi yalagulira mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda; n'agamba abantu bonna aba Yuda ng'ayogera ati Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Sayuuni lulikabalwa ng'ennimiro ne Yerusaalemi kirifuuka bifunvu, n'olusozi olw'ennyumba luliba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.