Jeremiah 26:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo Kezekiya, kabaka wa Yuda oba omuntu omulala yenna mu Yuda yamutta? Teyatya buti Mukama n'amusaba kusaasirwa? N'Omukama teyeddamu ku kabi ke yali abaweredde? Naye ffe kati tugenda okwereetera akabi akanene.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya oba omuntu omulala yenna mu Yuda, yamutta? Keezeekiya teyatya Mukama n’anoonya ekisa kye? Era Mukama teyakyusa n’ataleeta kuzikirira kwe yali agambye okubaleetako? Naye tunaatera okwereetera obulabe obw’amaanyi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya kabaka wa Yuda ne Yuda yenna bamutta? Teyatya Mukama ne yeegayirira ekisa kya Mukama, era Mukama teyejjusa obubi bwe yali abalangiriddeko? Naye ffe tugenda okwereetera akabi akanene.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Heezeekiya n'abantu b'omu Buyudaaya, tebatta Mikka. Naye Heezeekiya yassaamu Mukama ekitiibwa, n'amusaba abe wa kisa. Ne Mukama n'akyusa ekirowoozo kye, n'ataleeta kabi ke yali agambye okubatuusaako. Naye ffe tugenda okwereetera akabi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Keezeekiya kabaka wa Yuda ne Yuda yenna baamala ne bamutta? teyatya Mukama, ne yeegayirira ekisa kya Mukama, Mukama ne yejjusa obubi bwe yali aboogeddeko? Bwe tutyo twandyonoonye nnyo emmeeme zaffe ffe.