Jeremiah 26:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama kino ky'agamba: Yimirira mu luggya lw'Ekiggwa ky'Omukama oyogere eri abantu bonna ab'omu bibuga ebya Yuda abajja okusinza mu Kiggwa ky'Omukama; bagambe ebigambo byonna bye nkugambye; tolekaayo na kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Yimirira mu luggya lw’ennyumba ya Mukama oyogere eri abantu bonna ab’ebibuga bya Yuda abazze okusinza mu nnyumba ya Mukama. Bagambe byonna bye nkulagira; tobaako na ky’olekayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Yimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, oyogere n'ebibuga byonna ebya Yuda, abajja okusinziza mu nnyumba ya Mukama, ebigambo byonna bye nkulagira okubagamba; tolekaayo na kimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Yimirira mu luggya lw'Essinzizo, olangirire byonna bye nkulagidde okutegeeza abantu abava mu bibuga bya Buyudaaya, ne bajja okunsinziza mu Ssinzizo. Tolekaayo kigambo na kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Yimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, ogambe ebibuga byonna ebya Yuda, abajja okusinziza mu nnyumba ya Mukama, ebigambo byonna bye nkulagira okubagamba; tolekaayo na kimu.