Jeremiah 26:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era waaliwo n'omusajja eyalanga mu linnya ly'Omukama, yali Wuriya mutabani wa Semaaya ow'e Kiriyati-Yewarimu. Yalanga ebinagwira ekibuga kino n'ensi eno yonna nga Yeremiya bwe yakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo omusajja omulala Uliya omwana wa Semaaya ow’e Kiriyasuyalimu, eyawa obunnabbi mu linnya lya Mukama. Yawa obunnabbi bwe bumu ng’obwa Yeremiya obugugumbula ekibuga kino era n’ensi eno.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waaliwo n'omusajja omulala, Uliya mutabani wa Semaaya ow'e Kiriyasuyalimu; eyayogerera mu linnya lya Mukama, n'oyo yayogera ku kibuga kino ne ku nsi eno ng'ebigambo byonna ebya Yeremiya bwe bibadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale era waaliwo omusajja omulala ayitibwa Wuriya, mutabani wa Semaaya ow'e Kiriyati Yeyariimu, eyalagula mu linnya lya Mukama ebifa ku kibuga kino ne ku ggwanga lino, nga Yeremiya bwe yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waaliwo omusajja eyalagulira mu linnya lya Mukama, Uliya mutabani wa Semaaya ow'e Kiriyasuyalimu; n'oyo yalagula ku kibuga kino ne ku nsi eno ng'ebigambo byonna ebya Yeremiya bwe bibadde: