Jeremiah 26:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Yoyakimu, abagabe be bonna n'abakungu baawulira ebigambo ebyo; kabaka n'amunoonya amutte. Wuriya n'akimanya, n'atya, n'adduka, n'alaga mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula kabaka Yekoyakimu n’abakungu be bonna n’abasajja be n’ab’obuyinza, bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n’amunoonya okumutta, naye Uliya bwe yakiwulira n’atya n’addukira e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyakimu kabaka n'abasajja be bonna ab'amaanyi n'abakungu bonna bwe baawulira ebigambo bya Uliya, kabaka n'ayagala okumutta; naye Uliya bwe yakiwulira, n'atya n'addukira e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Yehoyakiimu ne basajja be ab'amaanyi n'abakungu be bonna bwe baawulira Wuriya bye yayogera, kabaka n'ayagala okumutta. Wuriya bwe yakimanya, n'atya, n'addukira mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Yekoyakimu kabaka n'abasajja be bonna ab'amaanyi n'abakungu bonna bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n'ayagala okumutta; naye Uliya bwe yakiwulira, n'atya n'adduka n'agenda mu Misiri: