Jeremiah 26:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka Yoyakimu n'atuma abasajja mu Misiri ko ne Elunatani, mutabani wa Akubori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Yekoyakimu n’atuma Erunasani mutabani wa Akubooli n’abasajja abawerako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakimu kabaka n'atuma Erunasani mutabani wa Akubooli, n'abantu abalala, e Misiri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'atuma Elunatani mutabani wa Akuboori, n'abantu abalala e Misiri okukimayo Wuriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyakimu kabaka n'atuma abantu e Misiri, Erunasani mutabani wa Akubooli, n'abasajja abamu wamu naye e Misiri: