Jeremiah 26:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Akikamu mutabani wa Safani yataasa Yeremiya, bw'atyo n'ataweebwayo mu mikono gy'abantu kuttibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akikamu mutabani wa Safani n’awolereza Yeremiya n’amuwagira n’ataweebwayo eri bantu kuttibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukono gwa Akikamu mutabani wa Safani, ne guba wamu ne Yeremiya baleme okumuwaayo mu mikono gy'abantu okumutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze Yeremiya, olw'okuyambibwa Ahikaamu mutabani wa Safani, ssaaweebwayo mu bantu kuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omukono gwa Akikamu mutabani wa Safani ne guba wamu ne Yeremiya baleme okumuwaayo mu mukono gw'abantu okumutta.