Jeremiah 26:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Osanga bawulira ne bakyuka, buli omu n'ava mu kkubo lye ebbi. Olwo nange nzija kweddamu ku kabi ke mbadde ndowooza okubakola olw'ebikolwa byabwe ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oboolyawo banaawulira, buli muntu n’akyuka okuva mu makubo ge amabi. Olwo nnejjuse nneme kubaleetako kikangabwa kyembadde ntegeka olw’okwonoona kwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpozzi baliwulira ne bakyuka buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nejjuse obubi bwe nteesa okubakola olw'obubi obw'ebikolwa byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oboolyawo banaawulira, ne bakyuka okulekayo empisa zaabwe embi. Olwo nja kukyusa kye mbadde nteesezza okubakolako olw'ebikolwa byabwe ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpozzi baliwulira ne bakyuka buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nejjuse obubi bwe nteesa okubakola olw'obubi obw'ebikolwa byabwe.