Jeremiah 26:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambe nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Bwe mutampulire ne mukwata etteeka lyange lye nabawa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagambe, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mutampulirize ne mugoberera amateeka gange ge mbawadde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era obagambanga nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutampulirize okutambuliranga mu mateeka gange ge ntadde mu maaso gammwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era bagambe nti Nze Mukama mbagambye nti mumpulire, mukwate amateeka ge mbateereddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era obagambanga nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutampulirize okutambuliranga mu mateeka gange ge ntadde mu maaso gammwe,