Jeremiah 26:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era bwe mutaawulirize bigambo bya baweereza bange abalanzi be mbatumidde buli olukedde, newandibadde nga mmwe temuwuliriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bwe mutaawulirize bigambo bya baddu bange bannabbi, be mbatumidde emirundi emingi wadde nga temubafuddeeko,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okuwulirizanga ebigambo by'abaddu bange bannabbi be mbatumira, awatali kwosa, naye mmwe ne mutawuliriza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era muwulirizenga ebyo abaweereza bange abalanzi, be mbatumira awatali kwosa, bye babategeeza. Naye mmwe temuwuliriza bye bagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuwulirizanga ebigambo by'abaddu bange bannabbi be mbatumira, okugolokoka nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, naye mmwe ne mutawuliriza;