Jeremiah 26:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo Ekiggwa kino ndikifuula nga Silo, n'ekibuga kino ndikifuula ekikolimo mu mawanga gonna ag'ensi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ndifuula enju eno nga Siiro era n’ekibuga kino ng’ekintu eky’okukolimirwa mu mawanga ag’ensi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale ndifuula ennyumba eno nga bwe nnakola Siiro, era ndifuula ekibuga kino ekikolimo mu mawanga gonna ag'omu nsi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutaalekere awo kunjeemera, ndikola ku Ssinzizo lino, kye nakola ku Siilo, era amawanga gonna ku nsi, ganaakozesanga erinnya ly'ekibuga kino nga gakolima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale ndifuula ennyumba eno okuba nga Siiro, era ndifuula ekibuga kino ekikolimo eri amawanga gonna ag'omu nsi.