Jeremiah 26:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya bwe yamaliriza okwogera byonna Omukama bye yali amulagidde okubuulira abantu bonna, bakabona, abalanzi n'abantu bonna wamu ne bamukwata, nga bagamba nti: “Oli wa kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna Mukama bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera byonna Mukama bye yali amulagidde okugamba abantu bonna, awo bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bamukwata nga boogera nti, “Tooleme kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olwamaliriza okwogera, ne bankwata, nga bagamba nti: “Oli wa kuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera byonna Mukama bye yali amulagidde okugamba abantu bonna, bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bamukwata nga boogera nti Tooleme kufa.