Jeremiah 26:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyinza otya okulanga mu linnya ly'Omukama nti Ekiggwa kino kiribeera nga Silo n'ekibuga kino kirifuuka matongo omutali asulamu?” Abantu bonna ne bakuŋŋaanira ku Yeremiya mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki oyogera ebyobunnabbi mu linnya lya Mukama nti, Ennyumba eno eneebeera nga Siiro, n’ekibuga kino kinaakubwa kisigale matongo?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekikwogezza mu linnya lya Mukama n'oyogera nti, ‘Ennyumba eno eriba nga Siiro n'ekibuga kino kirifuuka matongo nga tewali muntu akibeeramu?’ ” Abantu bonna ne bakuŋŋaanira awali Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyinza otya okwogera mu linnya lya Mukama nti Essinzizo lino lirifuuka nga Siilo, era nti ekibuga kino kirizikirizibwa, ne wataba muntu akibeeramu?” Abantu bonna ne bakuŋŋaanira we ndi mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekikulaguzizza mu linnya lya Mukama ng'oyogera nti Ennyumba eno eriba nga Siiro n'ekibuga kino kiriba matongo nga tewali muntu akibeeramu? Abantu bonna ne bakuŋŋaanira awali Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.