Jeremiah 27:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu masooka g'obwakabaka bwa Zedekiya, mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajja eri Yeremiya okuva ew'Omukama nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ntandikwa y’obufuuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajjira Yeremiya okuva eri Mukama:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku ntandikwa y'obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama nga kyogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zeddeekiya mutabani wa Yosiya, bwe yali nga yaakafuulibwa kabaka wa Buyudaaya, Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti