Jeremiah 27:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bye balanga gye muli bya bulimba, ekirivaamu muliggyirwa ddala mu nsi yammwe; ndibagoba ne muzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bya bulimba bye babalagula, n'ekirivaamu mulitwalibwa wala n'ensi yammwe, ndigibagobamu, era mulizikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Babalagula bya bulimba era balibaleetera okutwalibwa ewala w'ensi yammwe, ngibagobemu mmwe, era mbazikirize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga babalagula kya bulimba okubatwala ewala n'ensi yammwe; era ndyoke mbagobemu ne muzikirira.