Jeremiah 27:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye eggwanga bwe liriwetera ensingo yaalyo ekikoligo kya kabaka w'e Babiloni, ne limuweereza, ndirireka mu nsi yaalyo okugirima n'okugibeeramu, Omukama y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa eggwanga lirikutamya ensingo yaalyo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni limuweereze, nzija kuleka eggwanga eryo lisigale mu nsi yaalyo, okugirima, n’okugibeeramu, bw’ayogera Mukama.” ’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw'ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ab'eggwanga eririgondera obufuzi bwa kabaka wa Babilooniya, ne limuweereza, ndibaleka okusigala mu nsi yaabwe, okugirima n'okugibeeramu. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw'ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo.