Jeremiah 27:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nagamba Zedekiya, kabaka wa Yuda ebigambo bye bimu nti: “Ensingo zammwe muzikutamize ekikoligo kya kabaka w'e Babiloni; mumuweereze, ye n'abantu be, olwo munaalama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nategeeza obubaka bwe bumu eri Zeddekiya kabaka wa Yuda nga ŋŋamba nti, “Kutamya ensingo yo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni, beera omuddu we n’abantu be, onoobeera mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti, “Muteeke ensingo zammwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni, mumuweereze ye n'abantu be mubeere abalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ebintu ebyo bye bimu, ne mbitegeeza Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya, ne mmugamba nti: “Mukkirize okufugibwa kabaka wa Babilooniya. Mumuweereze ye n'abantu be, lwe munaalama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti Muteeke ensingo zammwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, mumuweereze ye n'abantu be mubeere abalamu.