Jeremiah 27:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki ggwe n'abantu bo mwagala okufa ekitala, enjala ne kawumpuli Omukama by'aweredde eggwanga eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babiloni?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki ggwe n’abantu bo mufa ekitala, n’ekyeya ne kawumpuli Mukama by’agambye okutuuka ku nsi yonna eteefuuke muddu wa kabaka w’e Babulooni?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwagalira ki okufa, ggwe n'abantu bo, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw'ayogedde ku ggwanga lyonna eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babbulooni?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe n'abantu bo, mwagalira ki okufiira mu lutalo, oba okufa enjala oba endwadde, nga Mukama bw'agambye nti ebyo bye birituuka ku ggwanga eritalikkiriza kufugibwa kabaka wa Babilooniya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwagalira ki okufa, ggwe n'abantu bo, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw'ayogedde: eby'eggwanga eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babulooni?