Jeremiah 27:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nze sibatumanga, Omukama y'agamba; balanga bya bulimba mu linnya lyange. Nzija kubagoba, muzikirire, mmwe n'abalanzi abalanga gye muli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Sibatumanga,’ bw’ayogera Mukama. ‘Bawa obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Noolwekyo, nzija kubagobera wala muzikirire, mmwe ne bannabbi ababategeeza obunnabbi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga sibatumanga, bw'ayogera Mukama, naye balagula bya bulimba mu linnya lyange; n'ekirivaamu nja kugibagobamu era mulizikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yennyini agamba nti tabatumanga, wabula boogera bya bulimba mu linnya lye. Kale ajja kubagoba mmwe mu nsi ye, muzikirire wamu n'abalanzi abo ababalagula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga sibatumanga, bw'ayogera Mukama, naye balagulira mu linnya lyange obulimba; ndyoke mbagobe mu ne muzikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula.