Jeremiah 27:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne ŋŋamba bakabona n'abantu bonna nti: “Omukama kino ky'agamba: Muleke kuwuliriza bigambo bya balanzi bammwe abagenda balanga nti: ‘Mu bbanga ttono ebibya by'omu Kiggwa ky'Omukama bijja kuzzibwa okuva mu Babiloni.’ Ebyo bye balanga gye muli bya bulimba bwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo ne ŋŋamba bakabona n’abantu bano bonna nti, “Kino Mukama ky’agamba nti, Temuwuliriza bannabbi abagamba nti, ‘Amangu ddala ebintu by’omu nnyumba ya Mukama bijja kukomezebwawo okuva mu Babulooni.’ Bababuulira bunnabbi bwa bulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne ŋŋamba ne bakabona n'abantu bano bonna nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Temuwulirizanga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti, ‘Laba, ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babbulooni,’ kubanga babalagula kya bulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne ntegeeza bakabona n'abantu bano bonna, Mukama by'agambye nti: “Temuwuliriza bya balanzi bammwe ababalagula nti ebintu by'Essinzizo bijja kuzzibwa mangu okuva e Babilooni. Babalagula bya bulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne ŋŋamba ne bakabona n'abantu bano bonna nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti Laba, ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba.