Jeremiah 27:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga balanzi, obanga balina n'ekigambo ky'Omukama mu bo, beegayirire Omukama w'Amagye, ebintu ebisigadde mu Kiggwa ky'Omukama ne mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yeruzaalemu, bireme kutwalibwa mu Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baba bannabbi nga balina ekigambo kya Mukama, leka bakaabirire Mukama Katonda ow’Eggye nti ebintu eby’omuwendo ebikyasigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme kutwalibwa Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe baba nga bannabbi ddala, era n'ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w'eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okutwalibwa e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba ddala balanzi era nga balina obubaka bwange, kale beegayirire Nze Mukama Nnannyinimagye, ebintu ebisigaddewo mu Ssinzizo ne mu lubiri lwa kabaka wa Buyudaaya ne mu Yerusaalemu bireme kutwalibwa mu Babilooniya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba nga bannabbi, n'ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w'eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okugenda e Babulooni.