Jeremiah 27:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama w'Amagye kino ky'ayogera ku mpagi, ku Nnyanja, ku butandaalo ne ku bintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’ayogera ku mpagi, n’Ennyanja, okuteekebwa ebintu, n’ebintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, ebikwata ku mpagi, ne tanka, n'ebikondo by'ebinaabiro, n'eby'entebe, n'eby'ebintu ebirala ebyasigala mu kibuga kino,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye bw'atyo bw'ayogera ku mpagi ne tanka n'ebikondo by'ebinaabiro, n'ebintu ebirala ebyasigala mu Kibuga Yerusaalemu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mu kama w'eggye eby'empagi n'eby'ennyanja n'eby'entebe n'eby'ebintu ebifisseewo ebisigadde mu kibuga kino,